Ezera 5:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Noolwekyo kabaka bw’aba ng’asiimye, wabeewo okunoonyereza mu bitabo mu ggwanika lya kabaka eyo e Babulooni obanga ddala Kabaka Kuulo yawa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi. N’oluvannyuma kabaka atutumire okututegeeza ky’asazeewo ku nsonga eyo.
Read full chapter
Ezera 6:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekiragiro kya Daliyo
6 (A)Awo kabaka Daliyo n’awa ekiragiro okunoonyereza mu bitabo ebyabeeranga mu ggwanika e Babulooni.
Read full chapter
Eseza 3:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Awo Kamani n’agamba Kabaka Akaswero nti, “Waliwo abantu abasaasaanye ate nga beeyawudde ku mawanga mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwo; n’amateeka gaabwe ga njawulo ku g’abantu abalala bonna, era tebakuuma mateeka ga Kabaka. Noolwekyo tekigasa Kabaka kubagumiikiriza.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.