Abaebbulaniya 11:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
Read full chapter
Matayo 2:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuddukira e Misiri
13 (A)Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.”
Read full chapter
Matayo 2:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi
19 (A)Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri,
Read full chapter
Matayo 2:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[a] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya
Read full chapterFootnotes
- 2:22 Alukerawo yali mutabani wa Kerode nga yafuga Buyudaaya ne Samaliya, era yafugira emyaka kkumi gyokka. Yali mukambwe nnyo ate nga wa ttima, kyeyava aggyibwa ku bufuzi, n’oluvannyuma ebitundu ebyo bye yafuganga, byafugibwa abaamasaza abaali balondeddwa Kayisaali.
Matayo 27:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.